oda betisse empaka z’omupiira ezibadde ziyindira ku kisawe kye Banga mu kibuga kye Ntebe era nga team musanvu (7) zezibadde zetabye mumpaka zino. Ku tiimu zino kubaddeko aba boda boda, bakanaabe, ababbaliya, abasituzi, abavubi, abamaduuka nabalala.
Aba boda boda battunse ne bakanaabe era nga eddakiika 90 zaagenze okuggwako, nga tewaliiwo alengedde katimba ka munne, olwo nebagenda mu bunnya. Gwagenze okuggwa nga aba Boda boda bawangudde ba Kanaabe ne goolo 5 ku 4.
Empaka zino zaabadde zitegekeddwa Richard Kamunye, eyataddewo ekirabo kya Sseddume w’eMbizzi oba emitwalo 40 age’nsimbi. Kyokka abawanguzi nebasalawo okutwalamu Sseddume w émbizi mu kifo kya sente.
Kamunye agamba nti waakusigala ng’ategeka empaka zino singa aweza obuwagizi n’avujjirizi. Abatuuze bangi ab’ettanidde okulaba omupiira guno nga buli omu yabadde asasula nusu 500 okuyingira ku kisaawe, era bakira, enduulu obwedda zikubwa obutaddiriza.