Nkuba kyeeyo alogya ennaku jalabidde munsi z’abuwalabu

Mwana muwala Judith Nabaweesi enzalwa y’eMasaka eyali agenze munsi z’abawalabu e Jordan y’akomyewo y’ejjusa lwaaki yagenda anti ng’alojja embeera embi jeyayiseemu omuli okutulugunyizibwa bakamaabe.

Okwogera bino y’abadde yakatuuka ku kisaawe kye nnyonyi e Ntebe kulwokusattu lwa wiiki eno nga ayambibwako kampuni emu etegerekese nga Muko Protection Agency.

Nabaweesi agambye nti yagenda okukola asobole okuyamba abantu be kwosa nokuwerera abaana be naye weyatuuka mugwanga lya Jordan yatandika okutulugunyizibwa nga tebamuwa wadde emere kwosa n’obujjanjabi nasalawo okwetwaala ku polisi okusobola okuyambibwe.

Ono y’atutegeezeza nti abaana bangi mugwanga lya Jordan babonabona kubanga tewali embasse ya Uganda era nti abamu kubawala batuusibwaako n’ogwobuliisa manyi naye nga tebalina kyakola.

Awo weyasinziridde okwebaza ekitongole kya Muko Protection Agency olw’okumuyamba okukomawo mugwanga kubanga kampuni eyamutwaala emanyidwa nga Home Maker teyamuyamba kyoka nga yababuulira obuzibu bwayitamu nebatafaayo.

Hisham Najimeddin akulira kampuni eno agambye nti kituufu abaana bangi babonabona naye nti bakugezaako okw’ongera okukola ogw’obwanakyewa okusobola okubayamba era nakati bali kuddimo ery’okukomyawo baana bawala abawerera dala kuminababiri (12) wadde nga sikyangu kubanga kirimu emitendera minji nnyo kwosa n’ensimbi eziwerera dala.

About The Author

Johnmary Luwaga

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *