Ow’ebyobulamu eKatabi alabudde abatuuze kubisasiro

Abakulembeze mukabuga k’eKatabi (Katabi Town Council) batandiise kaweefube w’okulwanyisa kasasiro mu kitundu ky’abwe nga bakola bulungi bwansi. Batandikidde ku mwaalo gwe Kasenyi nga bayambibwaako abatuuze nabayizi okuva mumasoero agenjawulo era bano bakulembedwamu omusawo we by’obuamu mu Katabi Christopher Mukiibi.

Mukiibi wano wasinzidde n’ategeeza nti basazeewo okukola bulungi bwansi nga bayonja omwaalo gwe Kasenyi okusobola okukendeeza ekizibu kya kasasiro gw’eyagambye nti mungi nnyo era nga ebifo ebisinga tebiri mumbeera nungi olw’abatuuze okumansamansa ebisasiro wamu nempitambi mubuveera.

Ay’ongeddeko nti kaweefube ono wakusigala nga akolebwa lubeerera kubanga tebagala kufuna bizibu okugeza nga eky’atuuka ku bantu b’eKiteezi.

Mubigambo bye agambye nti, “ffena tulina okwasiza awamu okulaba nti tubeera bayonjo ate era nga tukungira endwadde awamu n’ebizibu ebirala ebisibuka kubukyafu”.

Mukiibi afundikidde akubiriza banna-Katabi okufaayo kubuyonjo ate nga bwebafuna n’ekukasente okuyita mukusunsula kasasiro ebivunda babyawuule nebitavunde kubanga byona birina omugaso mungeri ezenjawuulo okugeza abivunda biyinza okweyambisibwa munimiro ate ebisasiro ebitavunda okuli ebikyupa biyinza okuddizibwaayo nebakolamu ebintu ebirala.

Kansala Alex Dramaza, nga ono atuula n’ekukakyiiko kebyobulamu eKatabi agambye nti bagala okusomesa abantu kunkwata yakasasiro bakome okumansa buli webasanze kubanga kikyamu okumansamansa buli webasanze nga kino kyiviirako n’endwadde nyiji.

John Muhire omutunze ate era omukulembeze okuva mu mwaalo gwe Kasenyi agambye nti tebagenda kudamu kikiriza batuuze kumala gamansa bisasiro buli webasanze era nti bakuteekawo ebifo ebimanyibwa webasuula kasasiro emotooka zimusangewo atwalibwe walina okuterekebwa.

Wano wasinzide nalabula abatuuze nti singa omuntu yenna akwatibwa nga amansamansa ebisasiro wakuvunanibwa mumateeka awatali kukwatibwa kissa kubanga obuyonjo kikulu nnyo ate y’engeri yokutaasa abantu okufuna endwadde okuli kolera awamu n’endala ezisibuka kubukyafu.

Okutandiika kaweefube ono kivudde kubantu abasoba mwabiri okufiira mukubumbulukuka kwa kasasiro eKiteezi gy’ebuvuddeko, ekintu kye bagamba nti balina okukyitangira nga bukyaali okulema okutuukawo mukitundu ky’abwe.

Kyinajukirwa nti okuva edda n’edda bulunji bwansi yali nkola y’abuwaze eri buli muntu nadala mubitundu bya Buganda era y’ensonga lwaki e’nteeka teeka eno y’ekulembera emikolo gya Buganda ejisinga okuweebwa ekitiibwa nga mwe muli n’amatikira ga Ssaabasajja Kabaka.

About The Author

Johnmary Luwaga

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *