Abasajja 4 bavunaanibwa kusobya ku Nswaswa

Poliisi yakutte era n’eggalira abasajja bana (4) oluvanyuma lw’okukwatibwa ku katambi nga bali mu kikolwa ky’okwegatta n’enswaswa. Sandeep Tukram, Pawar Mangesh, Janardhan Kamtekar ne Akshay Sunil bebaggaliddwa poliisi mu Buyindi (India) olw’okwegatta n’enswaswa mu bikolwa by’omukwano.

Kigambibwa nti bano baabadde basaalimbidde mu kkuumiro ly’ebisolo erya gavumenti erimanyiddwa nga Maharashtra, gyebaabadde bagenze okuyigga. Wabula bano tebaakomye kusaalimba, baagasseeko n’okufungula enswaswa, olwo nebajeggala nga bwebekwaata ku butambi bw’okusimu.

Akatambi ka Kamera ezaateekebwa ku kuumiro ly’ebisolo lino, keekakutte ebikolwa abaami bano byebaabadde baliko wabula abakuumi bwebaagezezaako okubagombamu obwala, abasatu nebasimattuka. Bano nabo oluvanyuma baasangiddwa ku kyalo Hativ mu disitulikiti ya Ratnagiri Maharashtra.

Obudde bwonna, abakulu bano bagenda kusimbibwa mu mbuga z’amateeka bavunaanibwe. Okusinziira ku mateeka mu ggwanga lya Buyindi, singa omuntu asangibwa nga yevuluga ekisolo kyonna, asobola okusibwa obulamu bwe bwonna oba emyaka kkumi nga kwatadde n’okutanzibwa engasi.

Ekikolwa kino kyenyamizza abantu bangi nga bebuuza engeri omuntu ategeera gy’atandika okwebereka ekitonde ekyekulula,era nga kifaanana ng’omusota. Mu Buganda wano, enswaswa muziro era kiwanuuzibwa nti singa ebojja omusajja, asobola obutaddamu kuzaala. Kitonde ekyesisiwaza abangi era kifaananira ddala ggoonya.

Kyewunyisa abasajja abayindi gyebajje obuvumu n’ensaalwa okwebegeka ekitonde ekifaanana bwekityo.

About The Author

Gateway News

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *