Bino okubaawo babadde mumpaka zo’kusunsulamu abanabakwatira bendera mumpaka za’kamalirizo eza Buganda kumukolo ogwategekedwa ku Keba Xpress hotel esangibwa eKitala kuluguudo lweNtebbe.
Empaka zino za’genze okuggwa nga abalamuzi okwabadde Allan Kakembo, Victoria Nabuule, Fenando Mugisha awamu ne Andrew Benon Kibuuka balangiridde Roselyn Namuyanja Nakato okuva eNsangi nga yeya’liddemu bane alwendo nadirirwa Aminah Nampera kwosa Precious Nabuule saako ne Mariate Gita Nakalyowa nga bano be’bagenda okukyiikirira eSsaza lya Busiro mumpaka zobwa nalulunji wa Buganda.
Eron Vero Bbuye eyakyikiridde Sebwana omukulu we’Ssaza lya Busiro atendereza nyo omutindo abaana gwebayoleseza era na’kubiriza bana Busiro bona okuwagira era no’kusabira abaana baabwe basobole okuwangula engule yo’mwaka guno 2022.
Mubutuufu bwebumu yakubiriza abazadde okuyigiriza abaana okukola emirimo jobwanakyewa nga mwemuli ne bulunji bwansi okusobola okukuuma Buganda nga nyonjo awamu nobulamu obulunji.
Mukyala Eron era yakubiriza abazadde okuyigiriza abaana empisa enunji, obumu awamu ne’nono olwo Buganda esobole okubeera kuntiko.
Mungeri y’emu yasabye bana Busiro bona okuwagira tiimu y’esaza ey’omupiira era nafundikira nga abawa omulamwa agwa Busiro kuntiko Buganda kuntiko.
Doreen Doris Musoke eyakulidemu entekateeka eno yagambye nti basobola okunganya abaana 35 nebabasunsula okutuuka lwebasigazaawo 9 gwe wama era kwebasobodde okufuna 4 abanabakikirira kumutendera ogwa Buganda mumpaka eza’kamalirizo mubulange eMengo.
Fenando Mugisha omu kubalamuzi be’mpaka zino yatutegezeza nti abaana bona bayoleseza omutindo ogwamanyi ekyabawadde akaseera akazibu mukufuno abo abasoolobye kubanaabwe okusinga mumassaza amala jebasokera jebuvuddeko era na’kubiriza bona abayisemu okutereeza ebyo ebitasodde kugenda bulunji nga bali mumpaka za’kamalirizo.
Empaka eza’kamalirizo (Miss Tourism Buganda) zijakubaawo nga 2 omwezi ogwo’mwenda omwaka 2022 mubulange eMengo era nga Nabagereka Slyvia Najinda yasuubirwa okubeera omugenyi omukulu.