Omusibe afiiridde mu kaduukulu ka Police eMasaka

Bya JohnMary Luwaga

Ronald Kabuye eyabadde aggaliddwa ku Poliisi y’eMasaka asangiddwa ng’afiiridde mu kaduukulu munda mu ngeri etanategerekeka. Kigambibwa nti omusibe ono yabadde akwatiddwa mu Kigo ky’abakatuliki eBisanje mu kibuga Masaka bweyabadde alumbye abasaserodooti.

Ekyabadde kitanudde Kabuye okulumba abawereza ba mukama kikyatankanibwa newankubadde ng’ensonda ezimu zigamba nti yabadde agezaako kubba motoka mu kigo. Kyokka kino, abamu bakiwakanya, nga bagamba nti olukwe lw’omulumbaganyi ono lwabadde lusukka ku bubbi.


Kanyike eyabadde amaze okuyingira mu Kigo, yakwatiddwa abakuumi b’ekyalo nga bayambibwako abakozi mu kigo ky’e Bisanje era nebayita police mu kiro ekyakesezza olw’okusatu, n’emutwala mu kaduukulu kaayo eMasaka. Rev. Fr Richard Mugisha ow’omu kigo  ky’ebisanje ekirumbiddwa agamba nti yewuunyiza kumakya okutegeezebwa nti omuntu gwebakwasizza police nga mulamu, bamusanze afiiridde mu kaduukulu.

Muhamad Nsubuga ayogerera police eMasaka akakasizza eky’okuba nga omugenzi yabadde agezaako kubba motoka ya Fr. Mugisha era nti abamukutte bamutulugunyiza ebitagambika kyokka nti embeera embi mweyabadde tebasoose ku girabirawo.

About The Author

Gateway News

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *