Omusumba awanjagidde banna Uganda okubeera abalanzi b’omukama

Omusumba awanjagidde bana Uganda okubeera abalanzi b’omukama mumirimo jebakola. Omusumba Antony Zziwa owe’ssaza ly’eMityana bwabadde ayimba missa ey’okujaguza kulunaku lwomuwolereza wa kabondo ka St Antonio kukisomesa kya St Jude Abayita ababiri mu parish y’eMpala Entebbe awanjagidde bana Uganda okubeera abalanzi b’omukama mumirimo jebakola nga bajikola mungeri enungamu.

“Antonio yali muwulize era nga mwetowaze nyo, awo nno w’embasabira mwebulirire kuneyisa y’omutukirivu onno namwe mujitambuliremu ate era mujiteeke nemubaana bamwe naye ate temubakola ekyeejjo awa nno mulabirire bulunji abaana ate era mubakulize mumukama”.

Awo nno wasinziidde nagamba nti abatukirivu tebalina njawulo nabakirisitu n’olwekyo nabasaba obutenyoma wabula babalabireko era bongere nokubasaba babayambeko okutuukiriza mukama byayagala nga omwo mwemuli okukola emirimo mubutuufu bwajjo, okubeera abetowaze awamu n’okukola ebikolwa ebyekisa.

Era abasabye okuyiga okusiima bw’ewabaawo ekirunji oba ebirunji byebaba batuseeko nga mwemuli n’okusiima ababakoze obulunji.

“Ffena tukola munimiro ya katonda awo nno mubuli mirimo jemukola mukimanye nti mukama y’eyajibasindikamu era mujikole mungeri enungamu.”

Mungeri y’emu omusumba Zziwa awanjagidde abakirisitu okw’ongera okuwereza abaana mubunadiini b’eyunge mu matendekero ate era nokubasabira okunywerera mukukiriza basobole okuweesa mukama ekitiibwa.

Ayongeddeko nti kereziya sikizimbe wabula abakirisitu y’ekereziya nga n’olwekyo obuvunayizibwa bw’eddiini busibuka mumakka awo wasabidde abazadde okwongera okulungamya abaana mumbeera enunji nga babatekateeka bulunji n’enkola z’eddiini.

Amaliriza nga abasaba okusoma essaala mumakka gabwe awo nno abaana w’ebanakulira mumbera mukama jayagala mwatu nga n’empisa kwotadde.

About The Author

Gateway News

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *