Ow’ekitiibwa Charles Peter Mayiga katikiro wa Buganda okubirizza banna Uganda nadala abaganda okwongera okwenyumiriza munnono awamu n’obuwangwa bwabwe.
Bino abyogeredde kumukolo ogw’okwabya olumbe lwa taata wa Nabagereka omugenzi John Luswata Mulumba eNkumba mu Ntebbe.
Katikiro agambye nti amawanga ga Afirika nadala Uganda yetaaga okwongera okumanyibwa olw’obuwangwa nennono nadala enkola z’ebikka, enyambala, awamu n’ebirala so ssi kukoma kumanyibwa lwansolo zokka ezisangibwa mumawanga gano.
Awo nno wasabidde bana Uganda bona okwongera okwenyumiriza ate era n’okwagala ensi yabwe, ennono awamu n’obuwangwa bwabwe nga bwegwali kumulembe gwa bajjajja babwe.
Ow’ekitiibwa Mayiga afundikidde y’ebaza abateesiteesi okuyita mumitendera egy’etagisa mukwabya olumbe gwe wama obubonero n’abubaweera ddala.
Rev. Herbert Zziwa Ssalongo owa St Luke church of Uganda nga ono yeyakulembeddemu mukusaba akuutidde omusika awamu ne banaUganda bona obutetundako takka lyabwe kubanga kyekyobugaga ekyensibo kyebalina.
Mungeri y’emu asabye omusika okukumaakuma bane mungeri enungamu nga kitaabwe bweyali awo webanasobola okutambuza ekitibwa ky’enjju yabwe kubanga nkulu nyo anti mwemuva maama wa Buganda.