Oluvanyuma lwabamaduuka okwekubira enduulu kubantu abaali batundira emabali wekubo lya Nkumba Kisembi okujibwawo akulira abakozi ba gavumenti (town clerk) kugombolora ya Katabi awamu n’abakatale ka Baita ababiri n’ebatekebwa mumaaso g’akatale, sentebbe w’egombolola abalagidde baddeyo jebaali bakolera nga bwegwaali.
Ronald Kalema sentebbe w’egombolola y’eKatabi agamba nti tekisoboka kubeera nabantu bano mumaaso gakatale ak’esalira ate era nga teyandyagadde kuwabirwa basuubuzi abatundira mumaduuka kubanga bambi basasula emisolo nga bwegitegekerwa gavumenti.
Era ayongeddeko nti abantu bano abakidomoole bwebabeera kumabali w’ekubo baletawo omugoteko n’ekiretera ebyentambula okuzingama sinakindi okulumizibwa mububenje kubanga ekubo lino ery’Entebbe – Kampala liyisa ebidduka binji kumisindde ejenjawulo engeri jekyiri nti ly’ekubo eritwala abatambuze kukiseewo kyenyonyi.
Wabula sentebbe ono abakuutidde okukola nga bagendera kumateeka agakanyizibwako omuli okubeera abayonjo, okumaliriza emirimo jabwe mubudde obwakanyizibwako nga z’essaawa sattu (3) ez’enkya buli lunaku, obutakola kerere esukiridde awamu n’amalala.
Kinajukirwa nti abasuubuzi bano abasoba mukikumi (100) baali bajibwawo Geoffrey Muganga nga ono y’akulira abakozi ba gavumenti kugombolora ya Katabi gyebuvuddeko n’ebatekebwa mumaaso g’akatale ebali w’ekubo lya Entebbe – Kampala.