Bwabadde ayimba missa eyokwebaza katonda elw’ekigo kya Mary Queen of Martyrs Mpala parish okuweza emyaka munaana, Ssaabasumba wa Kampala Paul Ssemwogerere akubiriza abakirisitu okunyikiza enzikiriza awamu n’okutabagana n’abantu banaabwe singa wabaawo okusobagana olwo basobole okutambula obulungi.
Ssaabasumba Paul Ssemwogerere nga ono mwana nzalwa mu parish eno, mungeri y’emu asabye banaNtebbe okwongera okuwagira omulimo ogw’okuzimba ekereziya awamu n’okwongera okwatagana obulungi n’abasosolodooti abali kukifo kino okusobola okutambuza emilimo gy’ekereziya kinawadda.
Kumukolo gw’egumu Ssaabasumba avumiridde ebikolwa ebikontana n’ekereziya nadala abantu ab’ekikula ekyimu okuwasangana.
Omukolo guno gw’etabidwako abankungu abenjawulo omuli abakulembeze ba government y’awakati n’eyemengo awamu n’abantu abalala okuva mubitundu ebyenjawulo.
Rev. father Joseph Kirumira ng’ono y’ebwanamukulu w’ekigo kino yayanjulidde abakrisitu ebimu kubitukidwaako mubanga ery’emyaka omunaana era mungeri ey’enjawulo wabaddewo okusonda ensimbi ezokuzimba ekereziya nga eno esuubirwa okutuuza abantu abawera enkumi satu (3000) nga esuubirwa okumalawo obuwumbi mukaaga.
Ow’ekitiibwa Mary Babirye Kabanda ng’ono y’abadde omugenyi omukulu akubiriza abazadde okutegeka abaana nadala mumpisa enungi, okubakuliza mudiini awamu n’okubasomesa kubanga b’ebakulembeze eb’enkya era n’awunzika mungeri ey’enjawulo nga ayozaayoza Ssaabasumba olw’ekula lyeyatuukako awamu n’okuteeka etofaali kumulimo gw’okuzimba ekereziya.
Sentebbe wa Katabi town council Ronald Kalema mububaka bwe ayozaayoza Mpala parish okuweza emyaka munaana awamu n’okwaniriza Ssaabasumba mu kitundu mwazaalwa era naye n’eyegata kubakristu nga awaayo etofaali kumulimo gw’okuzimba ekereziya eno.
Kinajukirwa nti Mpala parish yagulibwawo Ssaabasumba kati omugenzi Cyprian Kizito Lwanga nga esalibwa ku Kisubi parish era nga sente ezisoba mubukadde nsanvu z’ezisondedwa kumulimo gw’okuzimba ekereziya eno mubuliwo awamu n’emubisuubizo.