Akola Obulunji Asiimibwa – Sabasumba Paul Ssemogerere

Okwogera bino Sabasumba Paul Ssemogerere ow’essaza ekulu ery’eKampala abadde ayimba missa y’okujukira awamu n’okusabira omugenzi Hon. Patrick S. Musisi nga ono yaliko omukiise mu seteserezo w’egwanga okumala ebisanja bibiri.

Sabasumba akuutidde banaUganda bona okwagalana awamu n’okuwangana ekitiibwa mumbeera zona.

Mungeri y’emu asiimye akensuso namwandu awamu n’abaana okukuuma ebyobugaga omugenzi byeyaleka awamu n’okwongera okutambuza ensigo mwami Musisi kweyatambulizanga obulamu bwe nga mwemuli omukwano, enkulakulana awamu n’okutambuliranga mubwerufu.

Rtd Dr. Co Kizza Besigye munabyabufuzi omukuukuutivu asinzidde awo n’akowoola banabyabufuzi bona okuva mubibiina ebyenjawulo okwatagana bwabanaaba nga bagala enkyuukakyuuka.

Mubigambo bye agambye nti “Tetuli mulutalo lwabibiina wabula tuli mulutalo lwakulwanirira enkola esobozesa ebibiina byobufuzi okubeerawo kubanga esaawa eno obwenkanya mugwanga tebuliiwo nga abamu bakirizibwa okukola enkungaana ate abalala nga tebakirizibwa”.

Sadam Gayira omukulembeze w’ekibiina kya people’s progress party avumiridde abakozesa omutimbagana mungeri etyobola abantu abalala ate nga bakozesa olulimi oluganda gwe wama n’ekiwa ekifaananyi ekibi kubwakaba awamu n’obuganda bwona.

Ayongeddeko nti omuntu y’ena nga tanatyobola muntu mulala y’adikitadde mundowooza nti munange oyo y’ena gwatyobola aliko abantu abamulabamu omugaso n’ekitiibwa nga kw’ekuli abaana, omukyala awamu n’enganda.

Catherine Musisi namwandu wa Hon. Patrick S. Musisi y’ebaziza nyo banabyabufuzi bona obutabalekereranga ate era n’abasuubiza okwogera okukuuma awmu n’okutambuza ekitiibwa awamu n’enkola z’omugenzi mumaaso.

JB Mutebi Musisi omusika w’omugenzi y’ebaziza mikwano gy’akitabwe okubeera abantu abalunji okuviira dala nga kitaabwe akyaliwo n’okutuusa kati nga amazze emyaka ejikunukiriza mu 18 nga afudde.

Omukolo gw’etabidwako abakukunavu banji nga kwekubadde e’yaliko omumyuuka w’egwanga Edward Kiwanuka Ssekandi, abakiise museteserezo w’egwanga okuva mubitundu ebyenjawulo, abakulembeze b’eWakiso okubadde sentebbe Matia Lwanga Bwanika, Ronald Kalema owa Katabi, Al-Bashir Kayondo owa Kajjansi, abakulembeze okuva mukibiina kya democratic party, ba kansala awamu n’abatakka.

About The Author

Gateway News

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *