Eddwaliro ly’eNtebbe ekulu erimanyidwa nga Entebbe General Hospital liddukiridwa n’ekitanda ky’abakyaala kwebazaalira era nga kino kiweredwaayo abatuuze abakyaala okuva mu kibuga ky’eNtebbe.
Obuyambi buno buvudde ku baluwa eyali ku mutimbagano okuva mu Parliament eyali eraga nga eddwaliro lino bweritalina bitanda bya bakyaala kwebazaalira ebiri kumutindo gw’ekitongole kye by’obulamu.
Kigambibwa nti ekitanda kino kimazeewo obukadde 3 obw’ensimbi za Uganda ezasondedwa banna-Ntebbe.
Dr John Bosco Nsubuga akulira eddwairo lino musanyu eringi y’ebaziza abatuuze okuvaayo nebasonda ekitanda kino nagamba nti kino kirungi nnyo era bakusigala nga babawereza bulungi.
Alapha Ssekawooya omukiise kumonisipali y’eNtebbe yagambye nti kituufu b’affuna obubaka nti eddwaliro telirina bitanda bituukaganye namutindo kwekusalawo okusonda ensimbi nebagulayo ekitanda kimu eky’omulembe era n’asaba abalala abalina obusobozi bayambeko okwongerayo kubitanda ebirala kubanga obw’etaavu w’ebuli.
Dr John Kalyesubura owe by’obulamu Entebbe agambye nti sikituufu nti abakyaala babadde bazalira wansi, naye nti babadde tebalina bitanda byamulembe ebizalibwaako naye kati basanyufu okuba nga abatuuze basobodde okusondayo ekitanda kino nga bwebalinda ebya gavumenti w’ebinatuukira.
Joyce Nabatta eyakulembedemu enteekateeka eno agambye nti nga omukyaala bw’eyalaba amawulire nti eddwaliro lino lirina ekizibu ky’obutaba nabitanda byamulembe abakyaala kwebasobola okuzaalira nasalawo okukunga abantu nebasonda ekitanda kino.
Mubuufu bw’ebumu y’asabye abalina obusobozi okukwatizaako eddwaliro lino lisobole okufuna ebitanda bino nga bwebalinda okukola kunsonga endala.
Kigambibwa nti eddwaliro line erisangibwa Entebbe lijjanjaba abakyaala 650 buli mwezi nga bebakyaala 4,287 buli mwaka okuva mu districts mukaaga okuli Kampala, Wakiso, Mpigi, Entebe newalala.