Enkalu kunsonga za kasasiro eNkumba

Wabaluseewo obutakanya wakati wa sentebbe wa katabi town council Ronald Kalema Basamulekkere n’obukulembeze bwa munisipaali y’eNtebbe bwalumiriza okulemererwa okuyimiriza ebimotoka bya kasasiro ebimuyiwa e Nkumba ate nga byayimirizibwa gyebuvuddeko.

Sentebbe wa Katabi avudde mu mbeera n’akyiika emotoka ye mukubo eriyingira mukifo ekiyibwamu kasasiro era natabukira n’abakulembeze ba munisipaali y’eNtebbe nga abalumiriza okwesulirayo ogwanagamba munange nga ebimotoka bya kasasiro okuva e Kampala byongera omuyiwa e Nkumba ate nga byayimirizibwa.

Kalema y’enyamidde olw’obujoozi awamu n’okunyomoola ekiragiro ekyatuukibwako mulukiiko olwatuuzibwa omumyuuka wa saba-minisita Owekitiibwa Rebecca Alitwala Kadaga jebuvuddeko nga bayimiriza banna Kampala okuyiwa kasasiro eNkumba.

Omukulembeze w’eKatabi agamba nti wadde ekifo gyebayiwa kasasiro kyagulwa munisipaali y’eNtebbe, kisangibwa mukitundu kyakulembera era nti kyajjula nga okwongerayo kasasiro omunji ava e Kampala kiteeka obulamu bw’abantu mu katyabaga ate nga abakulu ku municipaali y’eNtebbe b’esuulirayo gwanagamba.

Mubigambo bye agambye nti okujjula kwekifo kino kibawaliriza n’okusindika kasasiro mulutobazi oluli ku nyanja Nalubaale ekintu eky’obulabe eri obutonde bw’ensi awamu n’abantu era wano n’akukulumira nyo ow’ebyobulamu eNtebbe Carol Mulungi, awamu n’akulira abakozi ku munisipaali eno Emmanuel Mugisha Gakyalo okubalaatira munsonga eno.

Diana Kibuuka omu kubatuuze abaliraanye ekifo webayiwa kasasiro eNkumba agambye nti embeera ebasuseeko kyoka nga nabavunanyizibwa kukifo kino tebalina kyebakolawo okujako okusolooza sente kubimotoka bino ebiyiwa kasasiro anti bo bagufuula mugano nga tebafaayo kubulabe obuyinza okubalukawo eri enyanja awamu n’abantu.

Era wano abatunze basanyukidde eky’okugalawo omulyango oguyingiza ebimotoka bino okuyiwa kasasiro era n’ebebaza sentebbe awamu nabamutembeese kumulimo guno.

Oluvanyuma lwa Kalema okulagira abakulembeze b’eNtebbe okuvaayo bawule ebimotooka by’eNtebbe wamu nebyo ebiva e kampala, amyuka meeya w’eNtebbe Kabwama Charles ategezeza nti bagenda kuvaayo n’enkola enungamu okwawula emotoka zino kisobozese okulongoosa ebyasoba.

Wabula mungeri y’emu Kabwama agambye nti ekyokuyiwa kasasiro mulutobazi ku nyanja Nalubaale kikyamu nnyo era n’awagira entekateeka y’obukulembeze bwa Katabi.

Okufaananako n’emotoka okubadde eza Nabugabo, Homeklin n’emotoka ya police yag’anidwa okuyiwa kasasiro mukifo kino.

Kitegerekese nti oluvanyuma eyakwata tenda kukifo ekiyibwamu kasasiro amanyidwa nga Ssenfuka ataddewo olujji kumulyango oguyingira mukifo kino era wano ne sentebbe wa Katabi najawo emotoka jabadde akyiise mukubo wakati mukubakuutira okukiriza emotoka zoka ezirina kasasiro okuva mu Ntebbe ne Katabi.

About The Author

Johnmary Luwaga

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *