Omulabirizi w’eNamirembe aguddewo Ekanisa eMutungo

Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira omulabirizi w’obusumba bwe’Namirembe aguddewo ekanisa eMutungo nga eno eyitidwa “All Saints Mutungo Kitiko church of Uganda”.

Bwabadde agulawo ekanisa eno avumiridde ebikolwa ebyetemu nadala ery’emundu erifuuse baana baliwo ensangi zino munange nga akuuma ate omudumo agy’olekeza gwakuuma era awo wasinziridde natuusa okusaasira kwe eri abenganda ba minister Charles Engola olw’okuviirwako omuntu abadde ow’ensonga ate mukikangabwa bw’ekityo.

Mukw’ogera kwe era asabye banansi okwongera okubeera n’obwaseruganda nga bakulembeza emirembe awamu n’okusonyiwagana bwewabaawo embeera etatambula bulunji olwo egwanga lisobole okutebenkera.

Omulabirizi mungeri y’emu akubiriza abazadde okwagazisa abaana eddiini awamu n’okubatwalanga mukanisa baleme kuwankawanka wabula banywerere mukukiriza awo nno webanasobolera okubeera abantu abalimu ensa.

James Ssemango nga ono y’akuliddemu entekateeka y’okuzimba ekanisa eno alambiludde nti omulimo gw’okuzimba ekanisa kuwemense ensimbi ezisoba mukawumbi kasente za Uganda nga zona zaweredwayo abakulisitayo mungeri y’okusonda.

Mungeri y’emu akiloganyiza lwatu nti ekiddako kwekuteeka siiringi mukanisa, okuyooyoota oluggya awamu n’okuzimba ekizimbe okunasibwa amadduuka gw’okupangisa ekinaleetanga ejamba erinayambako mukukola emirimo gy’amukama.

All Saints Mutungo Church of Uganda esangibwa Mutungo Kitiko kuluguudo oluva eKajjansi okudda eMunyonyo mubusumba bwe Kabowa mubulabirizi bwe’Namirembe.

About The Author

Gateway News

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *