Ssabasumba wessaza ekkulu ely’eKampala Paul Ssemogerere asabye ababaka ba paliyamenti ababaga amateeka balekerawo okukola amateeka agatulugunya abantu wabula bakole ago agayamba abantu basobole okugeyagaliramu awamu n’okweyagalira munsi yabwe.
Okw’ogera bino, ssabasumba abadde akulembeddemu ekitambiro kye misa mu kiggo ky’eKisubi wakati mukutongoza ensawo ya ofiisi ye emanyiddwa nga SAAFU (Ssabasumba Annual Appeal Fund) mu vikaliyeti y’eNtebbe mukawefube w’okusonda ensimbi ez’okuddabiriza ekiffo kyabakateyamba e Nalukolongo.
Ssabasumba wakati mukitambiro kye misa kino awanjagidde ababaka ba parliament okusimbira ekuuli amateeka gona agatulugunya abantu kubanga kino kyekiviriddeko ebikolwa ebyobumenyi bwamateeka okweyongera enyo ensangi zino.
Mungeri y’emu akubiriza abakirisitu okulekerawo okuggulumiza amateeka g’ensi ate nebasulirira amateeka ga Katonda geyasaawo kuba kino kiviriddeko obusiiwufu bw’empisa okweyongera ensangi zino nga abantu bagulumiza nyo eby’ensi okusinga oyo nyini buyinza eyabatonda.
Mubuufu bw’ebumu ssabasumba asabye abantu okubeera n’emirembe munsi yonna nga ayita mububaka bwa Paapa Francis bweyalangirira nga asinzirira mukusereba kw’emirembe mubantu ba Katonda.
Entekateeka eno ey’ensawo ya SAAFU yatandikibwawo eyaliko ssabasumba wa Kampala omugenzi Dr Cyprian Kizito Lwanga mukawefube w’okuyamba bakateyamba awamu n’okutambuza emirimo gy’ekerezia mussaza ekulu ely’eKampala era wano abakirisitu basabidwa okugusa enteekateeka eno okusobola okulakulanya essaza gamba nga okuzimba amassomero, kerezia, amaka ga bakateyamba awamu n’ebirala.
N’omwaka guno essaza ekulu ely’eKampala litunuulidde okuddabiriza ekiffo kyabakateyamba e Nalukolongo mukisera kino ssabasumba kyagamba nti kiri mu mbeera mbi era nga wabaddewo omukolo ogwokusonda ensimbi okusobola okuddukirira enteekateeka eno.
Abamu ku bakulembeze nga kwotadde ne ssabakulisitu w’eNtebbe Deanary Philip Munduni abetabye mu kitambiro ky’amisa eno baniriza enteekateeka eno ey’ensawo ya ssabasumba eya SAAFU bwebatyo nebategeeza nga bwegenda okulakulanya ennyo ekelezia katolika.
Sentebbe wa SAAFU mussaza ly’eKampala, omukulu Edward Kanyike y’ebaziza abakirisitu awamu n’abawagizi b’ekerezia olwobugabirizi obuweredwayo munsawo eno okusobola okwanguyizako ssabasumba mukuyimirizawo emirimo gy’ekerezia.
Era wano wasabidde buli mukirisitu okuwayo enkumi biri (2,000/-) sinakyindi n’okusingawo buli mwaka okusobola okutuukiriza ekiruubirirwa ekyokunganya sente eziwerela dala biriyoni nnya (4 billion) kunteekateeka eno.
Ensimbi ezisoba mu bukadde 174 zezisondeddwa mubuliwo mukawefube w’okuddabiriza amaka gabakateyamba e Nalukolongo era nga kino kisanyusiza nnyo sabasumba Ssemogerere n’eyebaza abantu bonna abawaddeyo abavudde mu parishes zonna ezikola essaza ekulu ely’eKampala.
Mubigambo bye ssabasumba yatendereza nyo abakulembeze mu kelezia abasobodde okutembeeta ensonga ya SAAFU nga tebakoma kukunga bakirisitu wabula nga nabo batoola munsawo z’abwe okuduukirira kunsonga eno.
Essaza ekulu ely’eKampala likolebwa vikaliyeti nnya (4) okuli Wakiso, Entebbe, Kampala ne Villa Maria. Enkola eno yasooka kutongozebwa mu Wakiso, kati n’eNtebbe kiwedde era nga sabasumba agenda kuda mu Kampala eLubaga sabiiti ejja, awo afundikirire mu vikaliyeti ye Villa Maria.